Matthew 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: “Kye wandinfunyeeko kati kitone,” oyo teyeetaaga kuwa kitaawe oba nnyina kitiibwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe mugamba nti, ‘Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe mugamba nti: ‘Buli ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye nandikuwadde okukuyamba, kiweereddwayo eri Katonda,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe mugamba nti Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda,