Matthew 15:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu; enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Okusinza kwabwe kwa bwereere. Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“‘Naye bansinziza bwereere,’” “Bayigiriza amateeka g'abantu obuntu nga bye by'okukwata.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo by'abantu obuntu bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.