Matthew 16:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne basembera; okumugeza, ne bamusaba abalage akabonero okuva mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu, ne bamukema nga bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumukema. Ne bamusaba abawe akabonero akabalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.