Matthew 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba n'emigaati omusanvu olw'abantu enkumi ennya, ebisero bimeka bye mwakuŋŋaanya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era emigaati omusanvu, egyakkusa abantu enkumi ennya (4,000), n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate emigaati omusanvu egyakkusa abantu enkumi ennya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era emigaati omusanvu eri abo enkumi ennya, n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?