Matthew 16:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibalobedde okutegeera nga soogedde ku migaati bugaati kiki? Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'eky'Abasaddukaayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambye lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale lwaki temutegedde nti soogedde ku migaati, bwe mbagambye nti: Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambiridde lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.