Matthew 16:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne balyoka bategeera nga tabagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula enjigiriza y'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okwekuuma okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ne bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula kwekuuma Abafarisaayo n'Abasaddukaayo bye bayigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.