Matthew 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'alaga mu kitundu ky'e Kayisariya ekya Filippo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Omwana w'Omuntu abantu bagamba ye ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti, “Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atuuka mu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba boogera ku Mwana w'Omuntu, bamuyita ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?