Matthew 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amuddamu nti: “Simoni mutabani wa Yona, weesiimye, kubanga omubiri n'omusaayi si bye byakubikkulidde ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Olina omukisa, Simooni Ba-Yona! Kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Simooni, omwana wa Yona, oli wa mukisa! Kubanga omuntu si ye yakumanyisa ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.