Matthew 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange ka nkubuulire, oli Lwazi, ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekleziya wange; n'emiryango gy'emagombe tegirimusobola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nze ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno, so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange nkugamba nti: ggwe oli Peetero (ekitegeeza nti Lwazi), era ku lwazi luno, kwe ndizimbira ekibiina kyange eky'abakkiriza; n'amaanyi ag'emagombe tegalikisobola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.