Matthew 16:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ndikuwa ebisumuluzo by'obwakabaka bw'omu ggulu; kyonna ky'olisiba ku nsi, nga ne mu ggulu kisibiddwa; kyonna ky'olisumulula ku nsi, nga ne mu ggulu kisumuluddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu, kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa ne mu ggulu, kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululwa ne mu ggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuwa ebisumuluzo by'Obwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu; kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu ggulu.