Matthew 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva olwo Yezu n'asooka okutegeeza abayigirizwa be nti yalina okugenda e Yeruzaalemu, n'okubonyaabonyezebwa abakadde, abawandiisi n'abakulu b'abakabona, n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva olwo, Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abayigirizwa be nti ateekwa okugenda e Yerusaalemu, n'okubonyaabonyezebwa ennyo abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.