Matthew 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'akyuka n'agamba Petero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Onfuukidde kyesittazo, kubanga by'olowooza si bya Katonda, wabula by'abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'akyuka, n'agamba Peetero nti, “Dda emabega wange, Setaani! Oli nkonge gye ndi; kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'agamba Peetero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Oli nkonge mu kkubo lyange, kubanga ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akyuka, n'agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.