Matthew 16:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, sso n'afiirwa obulamu bwe? Ye omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? Oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? Tewali kintu na kimu muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?