Matthew 16:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe wamu ne bamalayika be; olwo aliweera buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika be, awe buli muntu empeera ye, ng'asinziira ku ebyo buli muntu bye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.