Matthew 16:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye Omwana w'Omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Omwana w'Omuntu ng'ajja mu Bwakabaka bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.