Matthew 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bukya, nti: ‘Olwa leero kikunta, kubanga eggulu limyukiridde ate likutte.’ Bwe kityo, mumanyi okusoma enfaanana y'eggulu, naye temusobola kusoma bubonero bwa biseera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku makya mugamba nti, ‘Wanaabayo omuyaga leero, kubanga eggulu limyuse era libindabinda.’ Mumanyi okunnyonnyola endabika y'eggulu; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?]
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku makya, mugamba nti: ‘Olwaleero wanaabaayo omuyaga, kubanga eggulu limyuse, era lizimbagadde.’ Mumanyi okuvvuunula amakulu g'endabika y'eggulu, naye temusobola kutegeera bye mulaba mu kiseera kino!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?