Matthew 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde ebbi era esseegu linoonya akabonero; naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula aka Yona.” N'abaleka, n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; naye tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abaleka, n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'omulembe guno ababi, era abaava ku Katonda, basaba akabonero, naye tebaliweebwa kabonero kalala, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abavaako n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'agenda.