Matthew 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa be bwe bajja emitala w'eri, baali beerabidde okuleeta emigaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa bwe batuuka emitala w'eri, baali beerabidde okutwala emigaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa bwe baatuuka emitala w'ennyanja, ne bajjukira nti tebaaleese migaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa ne bajja emitala w'eri, ne beerabira okutwala emigaati.