Matthew 16:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Mmwe ab'okukkiriza okutono, lwaki mwebuuzaganya nti temulina migaati?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka olw'okuba temulina migaati?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Mmwe abalina okukkiriza okutono, lwaki mugambagana nti temulina migaati?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amanya n'agamba nti Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka kubanga temulina migaati?

Recommended Reading