Matthew 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temunnaba kutegeera? Temujjukira emigaati etaano olw'abantu enkumi ettaano, ebisero bimeka bye mwakuŋŋaanya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano (5,000), n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temunnaba kutegeera, era temujjukira emigaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano, n'ebibbo bye mwakuŋŋaanya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano eri abo enkumi ettaano, n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya