Matthew 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ennaku mukaaga, Yezu n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda we, n'abambusa ku lusozi oluwanvu ku bbali bokka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku omukaaga (6) bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero, n'ab'oluganda Yakobo ne Yokaana, n'abakulembera ne balinnya ku lusozi oluwanvu bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, n'abooluganda Yakobo ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n'abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka: