Matthew 17:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze mbagamba nti Eliya yajja dda, ne batamutegeera, wabula ne bamukola kyonna kye baayagala. N'Omwana w'Omuntu bw'atyo bw'agenda okubonaabonera mu mikono gyabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola nga bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu naye balimubonyaabonya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, abantu ne batamutegeera, era ne bamukolako byonna bye baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'Omuntu balimubonyaabonya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa bo.