Matthew 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukama, saasira mutabani wange, kubanga agwa ensimbu, mulwadde nnyo; agwa lutata mu muliro, ne mu mazzi lunye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama wange, saasira omwana wange, kubanga agwa ensimbu, zimubonyabonya nnyo; emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bw'agamba nti: “Ssebo, kwatirwa mutabani wange ekisa, kubanga mulwadde wa nsimbu, ali bubi nnyo. Emirundi mingi agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, zimubonyaabonya nnyo: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi mu mazzi.