Matthew 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'afuuka mu maaso gaabwe; amaaso ge ne gayakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye nga byeru ng'ekitangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'afuusibwa mu maaso gaabwe, amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo endabika ye n'efuuka nga balaba. Amaaso ge ne gaakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'afuusibwa mu maaso gaabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omusana.