Matthew 17:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Lwa kubeera kukkiriza kwammwe okutono. Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye olusozi luno nti: ‘Vva wano, genda eri,’ ne lugenda; tewaliba kantu ke mutalisobola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono; kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; era tewali kigambo kye mutaliyinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Kubanga temulina kukkiriza kumala. Mazima mbagamba nti: singa muba n'okukkiriza wadde okutono ng'akasigo ka kaladaali, muyinza okugamba olusozi luno nti: ‘Va wano, genda wali,’ ne lugenda, era tewali kiribalema. [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza.