Matthew 17:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka e Kafarunawumu, abasolooza b'ekitundu kya sekeli ne bajja eri Petero, ne bamugamba nti: “Mukama wammwe tawa kitundu kya sekeli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa diderakima?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abayigirizwa be bwe batuuka e Kafarunawumu, abasolooza omusolo ogw'Essinzizo ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti: “Mukama wammwe tawa musolo gwa Ssinzizo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bagamba nti Mukama wammwe tawa diderakima?