Matthew 17:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'addamu nti: “Awa.” Bwe yayingira mu nnyumba, Yezu n'amwesooka n'amugamba nti: “Simoni, olowooza otya? Bakabaka b'ensi bawooza ku baani empooza oba omusolo? Ku baana baabwe bennyini nandiki ku balala?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’abaddamu nti, “Awa!” Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaddamu nti, “Awa.” Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti, “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza ku bantu ki? Ku baana baabwe nantiki ku bannamawanga?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: “Awa.” Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n'amwesooka, n'agamba nti: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi, empooza oba omusolo babiggya ku bantu ki? Ku baana baabwe, oba ku bantu balala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Awa. Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga?