Matthew 17:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka obutabeesittaza, genda mu nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ekinaasooka okwambuka kikwate; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu sekeli; gitwale ogibawe ku lwange ne ku lulwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye, tuleme okubesittaza, genda mu nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri; otwale eyo, ogibawe ku lwange ne ku lulwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye obutabeesittaza, genda osuule eddobo mu nnyanja, ekyennyanja ky'onoosooka okukwasa, bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu ssente, ogitwale ogibawe, esasulire nze naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye, tuleme okubasittaza, genda ku nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo.