Matthew 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Petero n'agamba Yezu nti: “Mukama, kirungi ffe okubeera wano; obanga oyagala, nzija kukola wano ensiisira ssatu: emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu (3), emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peetero n'addamu n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu; emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.