Matthew 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyayogera atyo, ekire ekitangalijja ne kibabuutikira; eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe neesiimiramu, mumuwulirenga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza, era, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'akyayogera, ekire ekitangalijja ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala, mumuwulirize.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.