Matthew 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali baserengeta olusozi, Yezu n'abalagira nti: “Kye mulabye temukibuulirangako muntu okutuusa Omwana w'Omuntu ng'amaze okuzuukira mu bafu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali nga bakka okuva ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti, “Temubuulirako muntu yenna bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali nga bakka ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti Temubuulirako muntu bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.