Matthew 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mmwe mulowooza mutya? Omuntu bw'abeera n'endiga ekikumi, emu ku zo n'ewaba, taleka awo ku nsozi ekyenda mu omwenda, n'agenda anoonya ebuze?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi (100), emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda (99), n'agenda ku nsozi, n'anoonya eyo ebuzeeko?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo n'ebula, taleka ekyenda mu omwenda ku nsozi, n'agenda anoonya eyo ebuze?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko?