Matthew 18:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate singa agizuuula, mazima ka mbabuulire, agisanyukira okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaawaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda (99) ezitaabuze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti: ng'agizudde, asanyuka nnyo olw'eyo emu, okusinga olwa ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.