Matthew 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'atakuwuliranga, ddira munno omu oba babiri ogende nabo, anti buli kigambo kyonna kikakasibwa n'obujulizi bw'abajulizi babiri oba basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'atakuwulira, twala omuntu omu omulala oba babiri, era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu buli kigambo kikakasibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'atakuwulira, ddayo gy'ali ne munno omu oba babiri, olwo buli kigambo kiryoke kikakasibwe nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.