Matthew 18:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo bw'agaana okubawulira, n'olyoka obuulira Ekleziya. N'Ekleziya bw'atagiwulira, mutwalenga ng'omukafiiri oba ng'omusolooza w'omusolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'agaana okuwulira abo, buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'agaana okubawulira, olwo tegeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Singa agaana okuwulira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, omuyisanga ng'atalina kukkiriza, era ng'omusolooza w'omusolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.