Matthew 18:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mazima mbagamba nti ababiri mu mmwe bwe munassanga ekimu ku nsi okusaba ekintu, Kitange ali mu ggulu agendanga kukibakolera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era mbagamba nti: ababiri ku mmwe bwe baneetabanga ku nsi, ne babaako kye basaba Kitange ali mu ggulu, alikibakolera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.