Matthew 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Petero n'amusemberera, n'amugamba nti: “Mukama, muganda wange anansobyanga emirundi emeka nga musonyiwa? Kutuusa ku mirundi musanvu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? Okutuusa emirundi musanvu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, emirundi emeka muganda wange gy'anaakolanga ebinnumya ne mmusonyiwa? Emirundi musanvu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? kutuusa emirundi musanvu?