Matthew 18:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa omuntu kabaka eyayagala okutereeza ebibye n'abaweereza be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo gw'ebintu bye, n'abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyayagala okuwozesa abaddu be ku bintu bye, bye baalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be.