Matthew 18:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali asoose okubawozesa, ne bamuleetera omu alina ebbanja lye lya talenta kakumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta omutwalo gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta omutwalo gumu (10,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'atandise okubawozesa, ne bamuleetera omu gw'abanja talanta omutwalo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi.