Matthew 18:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kubanga yali tasobola kuzisasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we n'abaana be na byonna by'alina, alyoke asasulibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja lisasulwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka teyalina nsimbi z'anaasasuza bbanja. N'olwekyo mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'e bintu bye byonna, ebbanja lisasulwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe.