Matthew 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye omuweereza ye omu bwe yafuluma, n'asanga muweereza munne eyamulinako ebbanja lya dinaari kikumi. N'amukwata, n'amukka mu bulago ng'agamba nti: ‘Nsasula ebbanja’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi (100), n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti, ‘Sasula ebbanja lyange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyokka omuddu oyo bwe yafuluma, n'asanga muddu munne gw'abanja denaari kikumi. N'amugwamu bulago nga bw'agamba nti: ‘Sasula ebbanja lyange!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange.