Matthew 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweereza munne n'avunnama, n'amwegayirira n'agamba nti: ‘Nkwata mpola, ndikusasula.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti, ‘Mmanja mpola, nange ndikusasula.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo muddu munne n'agwa wansi, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula.