Matthew 18:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baweereza banne bwe baalaba ekibaddewo, ne banakuwala nnyo; banne ne bajja babuulira mukama waabwe byonna ebifuddeyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Baddu banne bwe baalaba ebikoleddwa, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe byonna ebibaddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo.