Matthew 18:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama we n'akalala, n'amukwasa abakuumi b'ekkomera okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lye lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abaserikale bamubonyeebonye, okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.