Matthew 18:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola atyo obanga buli omu tasonyiwa munne na mutima gwonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we mu mutima gwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we, mu mutima gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.