Matthew 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyokka buli eyeesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo olunene okusibibwa mu bulago bwe n'abbikibwa mu ddubi mu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, asaanye okusibibwa ejjinja mu bulago, asuulibwe mu nnyanja ebuziba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.