Matthew 18:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi zigisanze olw'ebyesittazo! Weewaawo ebyesittazo tebirema kujja, naye zimusanze oyo eyeesittaza!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ya kubonaabona olw'ebyo ebisuula abantu mu kibi. Bino tebirema kubaawo, kyokka omuntu abireeta, wa kubonaabona!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!