Matthew 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu olikasuke eri, waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu lukonko olw'omuliro ng'olina amaaso gombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu olisuule. Kirungi okufuna obulamu, ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, omuli omuliro ogutazikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeem ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.