Matthew 19:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga waliwo abalaawo abaazaalibwa bwe batyo, ne wabaawo abalaawo abaalaayibwa abantu, ate ne wabaawo n'abalaawo abeeraawa bokka olw'okubeera obwakabaka obw'omu ggulu. Kino ayinza okukitegeera, ategeere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu, waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukikkiriza, akikkirize.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga waliwo abalaawe, abaazaalibwa bwe batyo, waliwo abalaawe, abalaayibwa abantu, era waliwo abalaawe abeeraawa bokka olw'Obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukisiima akisiime.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu: waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu: Ayinza okukikkiriza, akikkirize.