Matthew 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abaana ne baleetebwa w'ali abasseeko emikono asabe. Abayigirizwa ne babakomako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, abasabire: naye abayigirizwa ne babajunga ababaleeta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko era abasabire eri Katonda. Kyokka abayigirizwa ne babaziyiza nga bababoggolera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, asabe: abayigirizwa ne babajunga.